Judges 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Abammoni ne basomoka Yorudani balwanyise Yuda ne Benyamiini n'ennyumba ya Efurayimu. Yisirayeli n'alaba nnyo ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, n’ennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda, Benyamini n'ekika kya Efulayimu; abaana ba Isiraeri ne beeraliikirira nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abammoni ne basomoka Omugga Yorudaani nabo okulwanyisa ekika kya Yuda n'ekya Benyamiini, n'ekya Efurayimu. Yisirayeli ne yeeraliikirira nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa ne Yuda ne Benyamini n'ennyumba ya Efulayimu; n'okweraliikirira Isiraeri ne yeeraliikirira nnyo.