Judges 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yefuta n'atuma ababaka eri kabaka w'Abammoni nti: “Kiki kye nakukola olyoke ojje okulumba ensi yange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni, ng’amugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni n'amubuuza nti, “Onvunaana ki? Lwaki ozze okulwanyisa ensi yange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yefuta n'atuma ababaka eri kabaka w'Abammoni okumugamba nti: “Otuvunaana ki? Lwaki olumba ensi yaffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni ng'ayogera nti Gw'olina ki nange, ekikuleese gye ndi okulwanyisa ensi yange?