Judges 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'Abammoni n'ayanukula ababaka ba Yefuta nti: “Kubanga Yisirayeli bwe yava e Misiri, yanyaga ensi yange, okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yorudani. Kale nno ginzirize mu ddembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’abaana ba Amoni n’addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yaboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isiraeri bweyava mu Misiri yatwala ensi yange, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani, kale kaakano munzirize ensi yange mu mirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'Abammoni n'addamu ababaka ba Yefuta nti: “Abayisirayeli bwe baava mu Misiri, baatwala ekitundu ky'ensi yange, okuva ku Mugga Arunoni, okutuuka ku Mugga Yabboki, ne ku Mugga Yorudaani. Kale kaakano ekitundu ekyo mukituddize lwa mirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti Kubanga Isiraeri yanziyako ensi yange bwe yayambuka okuva mu Misiri, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani: kale kaakano zizze ensi ezo lwa mirembe.