Judges 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yisirayeli n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'asaba nti: “Nzikiriza nkutulire mu nsi yo.” Naye kabaka wa Edomu teyawuliriza. N'atuma n'ewa kabaka w'e Mowabu; naye era teyamuganya. Awo Yisirayeli kwe kusigala mu Kadesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri n’atuma n’ababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye n’atabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isiraeri n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde, ka mpite mu nsi yo;’ naye kabaka wa Edomu n'atayinza kuwulira. Era n'atumira bw'atyo ne kabaka wa Mowaabu, naye n'atakkiriza, Isiraeri n'atuula mu Kadesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne batuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumusaba abakkirize okuyita mu nsi ye. Kyokka kabaka wa Edomu n'atabakkiriza. Abayisirayeli ne basigala e Kadesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'alyoka atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti Nkwegayirira, ka mpite mu nsi yo: naye kabaka wa Edomu n'atawulira: Era n'atumira bw'atyo kabaka wa Mowaabu: naye n'atayagala: Isiraeri n'atuula mu Kadesi.