Judges 11:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'ayita mu ddungu, n'abalaamiriza ensi ya Edomu n'ensi y'e Mowabu, n'ayitira ku ludda lw'ebuvanjuba obw'ensi y'e Mowabu, n'asiisira emitala wa Arunoni. Teyayingira mu nsi y'e Mowabu, kubanga Arunoni ye yali ensalo y'e Mowabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Awo Isirayiri n’alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n’ensi ya Mowaabu, n’ayita ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’ensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alunoni ku nsalo ya Mowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'alyoka akwata ekkubo ery'omu ddungu ne yeetooloola. Ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, n'asiisira emitala w'omugga Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne balyoka bayita mu ddungu, ne beetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, ne batuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni. Naye tebaatuuka mu ttaka lya Mowaabu, kubanga Arunoni ye nsalo ya Mowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala wa Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu: