Judges 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukazi wa Gileyaadi yennyini naye yamuzaalira abaana ab'obulenzi. Bo bwe baakula ne bagoba Yefuta, nga bagamba nti: “Tojja kugabana ku busika mu nnyumba ya kitaffe, kubanga oli mwana wa mukazi mulala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana b’omukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gireyaadi yalina mukazi we eyamuzaalira abaana abalenzi abalala; abalenzi abo bwe bakula, ne bagoba Yefusa awaka, nga bagamba nti, “Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
yalina batabani be abalala, aba mukazi we. Bwe baakula, ne bagoba Yefuta awaka, ne bamugamba nti: “Tolibaako ky'osikira mu nnyumba ya kitaffe, kubanga oli mwana wa mukazi mulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi ow'e Gireyaadi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; abaana ba mukazi we bwe baakula, ne bagoba Yefusa; ne bamugamba nti Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.