Judges 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Sikoni teyeesiga Yisirayeli kuyita mu nsi ye; wabula yakuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira e Yawazi, n'alwanyisa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sikoni n’ateesiga Isirayiri kuyita mu nsalo ye, era Sikoni n’akuŋŋaanya abantu be bonna, ne basiisira mu Yakazi, n’alwanyisa Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsi ye; n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi okulwana ne Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Sihoni n'ateesiga Yisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya eggye lyonna n'asiisira mu Yahazi n'alwanyisa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsalo ye; naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi, n'alwana ne Isiraeri: