Judges 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'awaayo Sikoni n'eggye lye lyonna mu mikono gya Yisirayeli. Yisirayeli n'abawangula, ne yezza ensi ye yonna ey'Abaamori ababeera mu kitundu ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ Mukama Katonda wa Isirayiri n’agabula Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, n’abawangula, era Isirayiri n’atwala ensi yonna ey’Abamoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda wa Isiraeri, n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri, ne babatta; Isiraeri n'alyoka atwala ensi yonna ey'Abamoli ne bagituulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'awa Abayisirayeli okuwangula Sihoni n'eggye lye. Abayisirayeli ne balyoka batwala ekitundu kyonna eky'Abaamori abaabeeranga mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wa Isiraeri; n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri; ne babatta: Isiraeri n'alyoka alya ensi yonna ey'Abamoli, be baatuula mu nsi eyo.