Judges 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bezza ensi yonna ey'Abaamori okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bawamba ensalo yonna ey’Abamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batwala ensi yonna ey'Abamoli, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yabboki, era n'okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala ekitundu kyonna eky'Abaamori, okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki, mu bukiikakkono, n'okuva ku Yorudaani mu bukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balya ensalo yonna ey'Abamoli, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki, era okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.