Judges 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba nno Omukama Katonda wa Yisirayeli amaze okugoberawo abantu be Yisirayeli Abaamori, kati ggwe olina buyinza ki okwagala okugyezza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kaakano obanga Mukama Katonda wa Isirayiri yagoba Abamoli mu maaso g’abantu be Isirayiri, ggwe ani okulwanyisa Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, ye yagobamu Abamoli n'agiwa Isiraeri, ate kaakano ggwe oyagala kugyediza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama Katonda wa Yisirayeli ye yagobamu Abaamori olw'abantu be Abayisirayeli. Ggwe onookyeddiza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, yagobamu Abamoli mu maaso g'abantu be Isiraeri, naawe wandibalidde?