Judges 11:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe osinga Baraki, mutabani wa Zippori, kabaka w'e Mowabu? Yali ayombyeko ne Yisirayeli wadde okumulumba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali akaayanyizza Isirayiri wadde okubalwanyisa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olowooza ggwe osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali awakanyeeko ne Isiraeri oba yali alwanyeeko nabo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olowooza nga ggwe osinga Balaki, mutabani wa Zippori, kabaka wa Mowaabu? Yawakanyaako Abayisirayeli, wadde okubalwanyisa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano gw'osinga Balaki mutabani wa ZipoIi, kabaka wa Mowaabu, n'akatono? yali awakanyeeko ne Isiraeri; oba yali alwaayeeko nabo?