Judges 11:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno si nze nkukola akabi, wabula ggwe onkola akabi ng'onnangirirako entalo. Omukama omulamuzi atusalirewo ekituufu wakati w'Abayisirayeli n'Abammoni.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano sirina kye nkusobezza naye ggwe onnumbye okulwana nange. Kale Mukama, Omulamuzi, leero alamule wakati w’abaana ba Isirayiri n’abaana ba Amoni.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze sikwonoonangako nakatono, naye ggwe onsosokereza okulwana nange; Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Si nze nsobezza, naye ggwe osobezza okunnwanyisa. Mukama ye mulamuzi. Alamule leero wakati w'Abayisirayeli n'Abammoni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nze sikwonoonanga, naye ggwe onsobezza okulwana nange: Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.