Judges 11:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama ne gukka ku Yefuta, n'ayita mu Gileyaadi ne mu Manasse, n'akutulira e Mizupa ekya Gileyaadi, gye yava n'alumba Abammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'atuuka mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, gye yava n'agenda eri abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yefuta, n'ayita mu Gileyaadi ne mu Manasse, n'adda mu Mizupa eky'omu Gileyaadi, n'agenda eri Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'ayita mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, n'ava e Mizupe eky'omu Gireyaadi n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni.