Judges 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yafuta n'adduka baganda be, n'agenda abeera mu nsi y'e Tovu. Abasajja endalagge ne bamukuŋŋaanirako, ne bagendanga naye okwaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yefusa n’adduka baganda be, n’agenda n’abeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gy’ali ne bamugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n'abeera mu nsi ye Tobu, abasajja abalalulalu ne begatta ne Yefusa ne batabaalanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yefuta n'adduka baganda be, n'abeera mu nsi y'e Tobu. Abasajja abataliiko kye bagasa ne bamukuŋŋaanirako, ne batabaalanga wamu naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n’abeera mu nsi ye Tobu: abasajja abataliiko kye bagasa ne bakuŋŋaana eri Yefusa, ne batabaalanga naye.