Judges 11:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyonna ekinaasooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana nga nkomawo n'obuwanguzi nga nva eri Abammoni, nzija kukiweereza Omukama ng'ekitambiro ekyokye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne nkomawo emirembe, omuntu yenna alisooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana, ndimuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omuntu alisooka okufuluma mu miryango gy'ennyumba yange okunnyaniriza nga nkomyewo n'obuwanguzi, aliba wa Mukama. Ndimuwaayo okuba ekitambiro ekyokebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olulituuka, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z'ennyumba yange okunsisinkana, bwe ndikomawo emirembe okuva eri abaana ba Amoni, kiriba kya Mukama, nange ndikiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa: