Judges 11:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabakuba okuva ku Aroweri okutuukira ddala ng'ojja e Minniti, bye bibuga amakumi abiri; ate n'okutuukira ddala e Abeli-Keramimu; yabakuba bubi nnyo. Abammoni ne batoowazibwa mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakuba okuva ku Aloweri okutuuka ku miriraano gye Minnisi, bye bibuga abiri (20), n'okutuukira ddala ku Aberukeramimu, n'atta abantu bangi nnyo. Bwe batyo abaana ba Amoni bwe bawangulwa aba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakuba okuva ku Aroweri okutuuka mu miriraano gya Minniti, bye bibuga amakumi abiri, n'okutuuka ku Abelu Keramimu. N'abattamu bangi nnyo. Bwe batyo Abammoni ne bawangulwa Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakuba okuva ku Aloweri okutuusa ng'ojja e Minnisi, bye bibuga abiri, n'okutuuka ku Aberukeramimu, n'abatta bangi nnyo: Abaana ba Amoni bwe baajeemulwa bwe batyo mu maaso g'abaana ba Isiraeri: