Judges 11:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yefuta bwe yali akomawo ewaabwe e Mizupa, laba, muwala we n'ajja okumusisinkana nga bw'azinira ku bugoma. Omwana yalina ono yekka, teyalina baana balala ba bulenzi wadde ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we n’ajja okumukulisaayo ng’akuba ebitaasa era ng’amuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yefusa n'addayo e Mizupa mu makage, laba muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'akuba ebitaasa era nga bwazina; era ye yali omwana we omu yekka; teyalina mwana wa bulenzi newakubadde ow'obuwala omulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yefuta bwe yaddayo eka mu Mizupa, muwala we n'ajja okumusisinkana ng'azina era ng'akuba ensaasi. Ye yali omwana we yekka. Teyalina mwana mulala ow'obulenzi oba ow'obuwala okuggyako oyo yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yefusa n'ajja e Mizupa eri ennyumba ye, era, laba, muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'alina ebitaasa era nga bazina: era ye yali omwana we omu; teyalina wa bulenzi newakubadde ow'obuwala wabula ye.