Judges 11:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti: “O, Mwana wange onzise! Ondeetedde emitawaana! Naye nalagaanya Omukama, sikyayinza kukola bulala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yefusa bwe yalaba muwalawe, n'ayuzaayuza engoye ze, n'agamba nti, “Zinsanze muwala wange, onnakuwazizza era onneeraliikiriza nnyo! kubanga nneyama obweyamo eri Mukama siyinza kubumenyawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira.