Judges 11:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala n'amwanukula nti: “Taata, oba walagaanya Omukama, nkola nga bwe wasuubiza, anti Omukama akuyambye n'owoolera eggwanga ku balabe bo Abammoni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwalawe n'amugamba nti, “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, kale nkola ng'ekigambo ekyava mu kamwa ko bwe kyali; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala n'amugamba nti: “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, tuukiriza kye wagamba okunkolako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga ku balabe bo Abammoni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Kitange, wayasama akamwa ko eri Mukama; nkola ng'ekigambo bwe kyali ekyava mu kamwa ko; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.