Judges 11:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amwanukula nti: “Genda.” N'amuleka emyezi ebiri, n'agenda ne banne eyo mu nsozi, ne bakaabira obubeererevu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe n'amugamba nti, “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri, ye ne banne nga bali mu nsozi nga akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yefuta n'amugamba nti: “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri. N'agenda ne mikwano gye mu nsozi n'akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Genda: N'amusiibula amale emyezi ebiri: n'agenda, ye ne banne, n'akaabira obutamanya bwe musajja ne bumukaabisiza eyo ku nsozi.