Judges 11:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyezi ebiri bwe gyaggwaako n'akomawo eri kitaawe, n'amukola nga bwe yali yeeyamye. Yali akyali mbeerera. Ne kifuuka mpisa mu Yisirayeli
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, omuwala n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’amuwaayo, nga bwe yeeyama. Yali muwala mbeerera. Era okwo kwe kwava empisa mu Isirayiri
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja. Eno ye yali entandikwa y'empisa mu Yisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyezi ebiri bwe gyaggwaako, n'akomawo eri kitaawe, n'amukola ng'obweyamo bwe bwe bwali bwe yeeyama: era yali tannamanya musajja.