Judges 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde b'omu Gileyaadi ne bagenda okuzza Yefuta okuva mu nsi y'e Tovu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde ab’e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye Tobu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagenda okuggyayo Yefuta mu nsi y'e Tobu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye, Tobu: