Judges 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde b'omu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Ekyo kye kituleese gy'oli; jjangu naffe olwanyise Abammoni; olifuuka mukulembeze waffe, n'abo bonna ab'omu Gileyaadi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Kyetuvudde tujja gyoli, ogende naffe tulwanyise abaana ba Amoni, era oliba mufuzi w'abantu bonna mu Gireyaadi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Tukyukira gy'oli kaakano, kubanga twagala ogende naffe olwanyise Abammoni, era obe mukulembeze wa bantu bonna mu Gileyaadi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Kyetuvudde tukukyukira nate kaakano ogende naffe olwane n'abaana ba Amoni, naawe oliba mukulu waffe afuga bonna abatuula mu Gireyaadi.