Judges 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yefuta n'agamba abakadde b'omu Gileyaadi nti: “Oba mumpita mbalwanirire mu lutalo n'Abammoni, Omukama amala abampa mu mikono gyange, ndibafuga?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yefusa n’abaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana n’abaana ba Amoni, Mukama n’abampangusiza, n’abeera omukulembeze wammwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange ne mbawangula; ndiba mufuzi wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yefuta n'abagamba nti: “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa obuwanguzi, ndiba mufuzi wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti Bwe mulinkomyawo ewaffe okulwana n'abaana ba Amoni Mukama n'abagabula mu maaso gange, ndiba mukulu wammwe?