Judges 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina abaana abalenzi amakumi ana n'abazzukulu amakumi asatu, nga beebagala endogoyi nsanvu. Yalamula Yisirayeli emyaka munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina abaana aboobulenzi amakumi ana, n’abazzukulu amakumi asatu abeebagalanga endogoyi nsanvu. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yalina batabani be ana (40) n'abazzukulu be asatu (30), abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu (70). Yalamulira Isiraeri emyaka munaana (8).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalina batabani be amakumi ana, ne bazzukulu be amakumi asatu, abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu. Abudooni yakulembera Yisirayeli okumala emyaka munaana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina batabani be ana n'abazzukulu be asatu, abeebagalanga ku baana b'endogoyi nsanvu: n'alamulira Isiraeri emyaka munaana.