Judges 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yefuta n'abagamba nti: “Nze n'abantu bange tubadde ku mbiranye nnyo n'Abammoni; nabalaajanira, naye temwajja kumponya mu mikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yefusa n’abaddamu nti, “Nze n’abantu bange twatawaana nnyo okulwanyisa abaana ba Amoni, era nabakoowoola mujje mutubeere, naye temwajja kutubeera kuva mu mukono gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yefusa n'abagamba nti, “Nze n'abantu bange twalina enkayana ey'amaanyi ennyo n'abaana ba Amoni netubayita mmwe naye ne mutajja kutuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yefuta n'abagamba nti: “Nze n'abantu bange twalina enkaayana ey'amaanyi n'Abammoni. Nabayita mmwe, naye ne mutajja kubamponya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yefusa n'abagamba nti Nze n'abantu bange twali tulwana nnyo n'abaana ba Amoni; awo bwe nnabayita ne mutandokola mu mukono gwabwe.