Judges 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yefuta n'ayita abasajja bonna ab'omu Gileyaadi n'alwanyisa Efurayimu. Abasajja b'omu Gileyaadi ne bakuba Abeefurayimu, kubanga Abeefurayimu baali babagambye nti: “Mmwe Abagileyaadi muli mmomboze mu Efurayimu ne Manasse; mwadduka kuva mu Efurayimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abantu b’e Gireyaadi bonna, ne balwanyisa Efulayimu. Abasajja ab’e Gireyaadi baabalwanyisa kubanga Efulayimu baayogera nti, “Mmwe muli bakyewaggula ba Efulayimu ab’e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu ne mu Manase.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi; ne balwana n'Abaefulayimu, Abagireyaadi ne bawangula aba Efulayimu, kubanga aba Efulayimu bayogeranga nti, “Muli abaatooloka okuva ku Efulayimu, mmwe Abagireyaadi, wakati wa Efulayimu ne Manase.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yefuta n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gileyaadi, n'alwanyisa Abefurayimu n'abagoba. Abeefurayimu baali bagamba nti: “Mmwe Abagileyaadi mu Efurayimu ne mu Manasse, mwadduka ku Efurayimu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi n'alwana ne Efulayimu: abasajja ab'e Gireyaadi ne bakuba Efulayimu, kubanga baayogera nti Muli badduse ba Efulayimu mmwe ab'e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu (ne) wakati mu Manase.