Judges 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagileyaadi ne bakwata emisomoko gy'oku Yorudani egisomosa mu Efurayimu. Oli mu bakaawonawo mu Efurayimu bwe yagambanga nti: “Ka nsomoke,” ng'abasajja b'omu Gileyaadi bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yagaananga nti “Nedda,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’e Gireyaadi ne bawamba ebifo bya Yoludaani okusomokerwa okutuuka mu Efulayimu, era bwe waabangawo ku bakomawo aba Efulayimu eyayagalanga okusomoka, abasajja ab’e Gireyaadi nga bamubuuza nti, “Oli Mwefulayimu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aba Gireyaadi ne beekwata ebifo awasomokerwa omugga Yoludaani, awo omuntu yenna avudde mu Efulayimu, bweyayagala nga okusomoka, Abagireyaadi ne bamubuuza nti, “Oli mu Efulayimu?” Bweyaddangamu nti, “Nedda;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagileyaadi okuziyiza Abeefurayimu okutoloka, beekwata ebifo byonna, Omugga Yorudaani we guyinza okusomokerwa. Buli Mwefurayimu eyajjanga n'asaba bamukkirize okusomoka, nga bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yaddangamu nti: “Nedda”,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'e Gireyaadi ne beekwata emisomoko gya Yoludaani okuteega Abaefulayimu: awo olwatuuka (omuntu yenna) ku badduse ba Efulayimu bwe yayogera nti Nsomoke, ab'e Gireyaadi ne bamugamba nti Oli Mwefulayimu? Bwe yayogera nti Nedda;