Judges 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bamugamba nti: “Kale gamba nti: ‘Shibboleti,’ ” ye ng'agamba nti: “Sibboleti,” kubanga yali tasobola kukyatula bulungi; nga bamukwata nga bamuttira awo wennyini ku misomoko gy'oku Yorudani. Mu budde obwo emitwalo ena mu enkumi bbiri be baafa mu Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne balyoka bamugamba nti, “Kale yogera Shibbolesi;” n'ayogera nti, “Sibbolesi;” kubanga teyayinza kukyatula bulungi. Ne bamukwata ne bamuttira awasomokerwa Yoludaani. Mu biro ebyo Abaefulayimu mitwalo ena mu enkumi bbiri (42,000) be battibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bamugamba ayogere nti: “Shibboleti,” n'ayogera nti: “Sibboleti,” kubanga teyayinzanga kukyatula bulungi, nga bamukwata, nga bamuttira ku emu ku nsomoko za Yorudaani. Mu biro ebyo, Abeefurayimu emitwalo ena mu enkumi bbiri ne battibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balyoka bamugamba nti Kale nno yogera Shibbolesi; n'ayogera nti Sibbolesi; kubanga teyayinza kukiruŋŋamya kukituusa bulungi; ne balyoka bamukwata, ne bamuttira ku misomoko gya Yoludaani; ne bafa ku Efulayimu mu biro ebyo obukumi buna mu enkumi bbiri.