Judges 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yefuta Omugileyaadi yalamula Yisirayeli emyaka mukaaga; Yefuta Omugileyaadi n'afa, n'aziikibwa mu kibuga Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kimu ku kibuga bya Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yefusa Omugireyaadi n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga (6) n'afa, ne bamuziika mu kibuga kye mu Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yefuta n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka mukaaga, n'afa, ne bamuziika mu kimu ku bibuga by'omu Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yefusa n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n'alyoka afa, ne bamuziika mu kibuga kimu ku by'omu Gireyaadi.