Judges 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina batabani be amakumi asatu ne bawala be amakumi asatu. Yafumbiza bawala be ebweru w'ekika kye, ne batabani be n'abawasiza abakazi ng'abaggya mu bika ebirala. Yalamula Yisirayeli okumala emyaka musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu, n’abaana aboobuwala amakumi asatu. Bawala be n’abafumbiza abantu abataali ba kika kye, ne batabani be n’abawasiza abawala abataali ba kika kye. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yalina batabani be asatu (30), ne abawala be asatu (30). Yafumbiza bawalabe asatu (30) mu bika ebirala, n'awasiza batabani be abakazi asatu (30) okuva mu bika ebirala. Yalamulira Isiraeri emyaka musanvu (7).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalina batabani be amakumi asatu, ne bawala be amakumi asatu. N'afumbiza bawala be abo mu bika ebirala. N'aggya abawala amakumi asatu mu bika ebirala, n'abawasiza batabani be. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka musanvu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina batabani be asatu, era yasindika abawala be asatu okugenda mu nsi endala, n'aggya abawala asatu mu nsi endala n'abawasiza batabani be. N'alamulira Isiraeri emyaka musanvu.