Judges 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne baddamu okweyisa obubi mu maaso g'Omukama; Omukama n'abawaayo mu mikono gy'Abafilisitiini okumala emyaka ana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama Katonda kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abawaayo okufugibwa Abafirisuuti okumala emyaka ana (40).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne beeyongera nate okukola ebibi ne banyiiza Mukama. Mukama n'abaleka okufugibwa Abafilistiya okumala emyaka amakumi ana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; Mukama n'abagabulira mu mukono gw'Abafirisuuti emyaka ana.