Judges 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'adduka mangu n'abuulira bba nti: “Omusajja eyajja luli gye ndi, andabikidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'agenda ng'adduka n'abuulira bba ng'agamba nti, “omusajja oli eyandabikira olulala era akomyewo gyendi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'adduka mangu n'abuulira bba nti: “Laba, omusajja oli eyajja gye ndi olulala, era andabikidde!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi n'ayanguwa n'adduka n'abuulira bba n'amugamba nti Laba, omusajja andabikidde eyanjijira olulala.