Judges 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talyanga kintu kyonna ekiva ku mizabbibu, tanywanga evviini oba ekitamiiza; talyanga ekitali kirongoofu. Ebyo byonna bye namugambye, abituukirizanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa envinnyo, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Talyanga ku kintu kyonna ekiva ku mizabbibu. Tanywanga mwenge, wadde ekirala kyonna ekitamiiza. Era talyanga kya muzigo na kimu. Akwatanga byonna bye namulagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatenga.