Judges 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manowa n'agamba Malayika w'Omukama nti: “Nkwegayiridde, ogira osigala naffe, tukuttire akabuzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Manowa n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nkwegayiridde lindako tukuteekereteekere omwana gw'embuzi omale okulya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manowa teyamanya ng'oyo malayika wa Mukama, kyeyava amugamba nti: “Nkwegayiridde, sooka oleke okugenda, tukufumbireyo embuzi ento.” Kyokka malayika wa Mukama n'agamba nti: “Ne bwe siigende mangu, era sijja kulya ku mmere yo. Naye bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, osaanidde okukiwa Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Nkwegayirira, tukulwiseewo, tukuteekereteekere omwana gw'embuzi.