Judges 13:16 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'ayanukula nti: “Ne bwe munansigaza wano, sijja kulya migaati gyo; naye oba oyagala okukola ekitambiro ekyokye, kiweereze Mukama.” Manowa yali tamanyi nti yali Malayika wa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “ Nnebwenalindako sijja kulya ku mmere yo, naye bw'oba oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira kukiwa Mukama.” Manowa yali tamanyi nga oyo yali malayika wa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'agamba Maaowa nti Newakubadde ng'onondwisaawo sijja kulya ku mmere yo: era bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira okukiwa Mukama. Kubanga Manowa yali tamanyi nga Ye malayika wa Mukama.