Judges 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Lwaki obuuza erinnya lyange eryewuunyisa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’amuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'agamba nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Olabye nga lya kitalo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'amuddamu nti: “Obuuliza ki erinnya lyange? Linnya lya magero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'amugamba nti Obuuliza ki erinnya lyange, kubanga lya kitalo?