Judges 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manowa n'akwata akabuzi, n'ekitone eky'obuwunga, n'abissa ku lwazi, n'abiweereza Omukama oyo akola ebyewuunyisa. Manowa ne mukazi we ne batunula balabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; malayika n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Manowa n'akwata embuzi ento n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'abiweerayo ku lwazi eri Mukama akola ebyamagero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; ne (malayika) n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira.