Judges 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo omusajja omu ow'omu Zora, ow'omu kika ky'Abadaani, erinnya lye nga ye Manowa. Yalina omukazi nga mugumba, nga talina mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabaawo omusajja ow’e Zola, ow’omu kika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo omusajja ow'e Zola ow'omukika kya Daani, erinnya lye Manowa; eyalina mukazi we nga mugumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omusajja, erinnya lye Manowa, ow'e Zora, ow'omu kika kya Daani. Mukazi we yali mugumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo omusajja ow’e Zola, ow’ekika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa: ne mukazi we yali mugumba ng'atazaala.