Judges 13:21 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama teyaddamu kulabikira Manowa ne mukazi we. Amangu ago Manowa n'amanya nti yali malayika wa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama bw’ataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ng’abadde malayika wa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama teyaddayo nate kulabikira Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga ye malayika wa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye malayika wa Mukama n'atalabikira nate Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga Ye malayika wa Mukama.