Judges 13:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukazi we n'amwanukula nti: “Singa Omukama yayagadde kututta, teyandikkirizza kitambiro ekyokye n'ekitone eky'obuwunga ebivudde mu ngalo zaffe; teyanditulaze ku bino byonna; teyanditutegeezezza na bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mukazi we n’amugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’empeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mukazi we n'amugamba nti, “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikkirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta, so teyanditubuulidde bigambo ebyo byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka mukazi we n'addamu nti: “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Era teyanditulaze bino byonna, wadde okutubuulira kaakano ebiri nga bino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mukazi we n'amugamba nti Oba nga Mukama abadde ayagala okututta, teyandikkirizza ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta eri omukono gwaffe, so teyanditulaze bigambo ebyo byonna, so teyanditubuulidde mu biro bino ebigambo ebiri bwe bityo.