Judges 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'alabikira omukazi oyo n'amugamba nti: “Kati oli mugumba, tolina mwana; naye ojja kufuna olubuto, ozaale omwana wa bulenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’alabikira omukazi n’amugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti, “Laba nno, oli mugumba so tozaala; naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi oyo n'amugamba nti: “Oli mugumba, tozaalanga ku mwana. Naye ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti Laba nno, oli mugumba so tozaala: naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi.