Judges 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weegendereze, tonywanga evviini oba ekitamiiza ekirala, era tolyanga kintu kitali kirongoofu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba nga tonywa envinnyo, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno weekuume, nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weekuume oleme kunywa ku mwenge, oba ku kitamiiza kyonna, wadde okulya ku kintu kyonna eky'omuzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno weekuume nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu: