Judges 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga ojja kufuna olubuto ozaale omwana mulenzi. Akamwano tekamuyitanga mu mutwe, kubanga aliba mwana munazireewo wa Katonda okuva mu lubuto lwa nnyina; oyo y'aliwonya Yisirayeli mu mikono gw'Abafilisitiini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; taamwebwengako nviiri kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto; era yalitandika okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omwana ow'obulenzi gw'olizaala, taamwebwengako nviiri, kubanga omwana oyo aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto. Ye alitandika omulimu ogw'okununula Yisirayeli mu Bafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala; omwana wa bulenzi; so akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto: era ye alitanula okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.