Judges 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye yaŋŋambye nti: ‘Ojja kufuna olubuto ozaale omwana mulenzi. Wekkaanye, tonywanga evviini oba ekitamiiza ekirala; tolyanga ekitali kirongoofu, kubanga omwana alibeera munazireewo wa Katonda, okuva lw'aligwa mu lubuto okutuusa ku lunaku lw'alifa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era aŋŋambye nti, ‘oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; okuva kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu; kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku lw'alifa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula aŋŋambye nti nja kuba olubuto, nzaale omwana wa bulenzi. Aŋŋambye obutanywa mwenge, wadde ekitamiiza ekirala kyonna, n'obutalya kintu na kimu eky'omuzizo, kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda obulamu bwe bwonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye n'aŋŋamba nti Laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; ne kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku olw'okufa kwe.