Judges 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manowa n'awanjagira Omukama nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, kkiriza omuntu wa Katonda gwe watumye akomewo gye tuli atubuulire kye tunaakolera omwana anaazaalibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma akomewo gyetuli omulundi ogwokubiri atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Manowa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, omuntu wa Katonda oyo gwe watumye, muleke adde gye tuli, atutegeeze kye tulikolera omwana, agenda okuzaalibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw'okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.