Judges 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'awuliriza okwegayirira kwa Manowa; malayika wa Katonda n'akomawo eri omukazi ng'ali mu nnimiro. Bbaawe Manowa teyali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda najja eri omukazi omulundi ogwokubiri bwe yali nga atudde mu nnimiro; naye Manowa, bba, teyali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'akola ekyo Manowa kye yasaba, malayika we n'adda eri omukazi bwe yali ng'atudde mu nnimiro, kyokka Manowa bba teyali naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda n'ajjira omukazi olw'okubiri bwe yali atudde mu nnimiro: naye Manowa bba teyali naye.