Judges 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe n'agenda omukazi gye yali, Samusoni n'akolerayo embaga, nga bwe yali empisa abavubuka okukola batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni n’akolerayo embaga ng’empisa y’abawasa bwe yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe n'agenda mu maka g'omuwala, Samusooni n'akolerayo embaga, kubanga abaawasanga bwe batyo bwe baakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawe n'agenda mu maka g'omuwala, Samusooni n'akolerayo embaga, kubanga abawasa bwe batyo bwe baakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaawe n'aserengeta eri omukazi: Samusooni n'afumbayo embaga; kubanga bwe baayisanga okukola bwe batyo.