Judges 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baamulaba, ne bamuleetera banne amakumi asatu babeere naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu (30), okubeera naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya bwe baamulaba, ne baweereza abavubuka amakumi asatu okubeera naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu okubeera naye.