Judges 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe kinaabalema okutta, mujja kumpa engoye empeweevu amakumi asatu n'emiteeko gy'ebyambalo amakumi asatu.” Ne bamugamba nti: “Kale yogera ekikoco kyo tukiwulire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu (30), n'emiteeko gy'engoye asatu (30).” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe mulimpa engoye ennungi amakumi asatu, n'ebyambalo amakumi asatu eby'oku mbaga.” Ne bamugamba nti: “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu. Ne bamugamba nti Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.